歌词
@migu music@
Ebibuuzo - Bobi Wine
Well this is Bobi Wine bringing a prophecy to you
Okubajjukiza kye mulina okujjukira
Naye nga temwagala kujjukira
Gando die
This is no joking
A revelation cycle we ah fi born to
Everyday di weak man
Oba ebyawandiikibwa by'ebituukirira
Oba ensi y'ekyukirira
Gando
Ne bwe nnyimba nnyimba lwa kunoonya kamere
Naye nga bino bye nnyimba ssi bya masanyu
Mpulira obulumi obunkolokota ku mutima
Kko nze kansibe law nzije mbyatule
Ensi eno ekyuse nnyo bannange
Naye Mukama alabika ng'eyatwetamwa
Bano abaana baffe be tuzadde balabye
Okusikira ekisi kino nga kimaze okutubira
N'abafuzi baffe abanditulaze ekkubo
Omulimu gwe baliko omukulu gwa kugabana nsi
Bannamadiini Katonda be yali yeesiga
Babbira mu linnya lya Katonda
Oh what a mishap this
We have in our community
Buli kimu kya bbeeyi kuva ku kibiriiti
N'ebizimbe bwe bigwa
Bwe bitta abantu
Ebibuuzo bingi nga answer ntono ooh
Nga wakedde n'ogenda otunula mu city
Abakola ennyo bafuna katono ate mu bulumi
Abakola ekitono be bafuna ekinene why
Nange kye neebuuza munnange
Abakadde b'envi kati be bawasa abawala abato
Abavubuka abato olwo ne tuwasa abakadde
Ne weebuuza ensonyi zadda wa ennaku zino
Nange kye neebuuza munnange
Abantu kati be bagenda ku nsolo
Ensolo ne zigenda ku bantu mubiraba mu mawulire
Abasajja kati baagala basajja bannaabwe
N'abakazi bwebatyo laba ebola n'ennyanja ekaze
Oh what a mishap this
We have in our community
Buli kimu kya bbeeyi kuva ku kibiriiti
N'ebizimbe bwe biggya
Bwe byokya abantu
Ebibuuzo bingi nga answer ntono ooh
Jah to know tell all dem Selassie I know
Coming to tell you say we're
Living in the last days man
'Member the days of Sodom and Gomorrah
'Member the days of Noah bwah boss
So you see man marry man
In the name of God abomination
So preacher dem keep in Jesus name
Gando
Eh yeah
Laba kati abawala tebakyayagala na kuzaala
Bwe yeewaliriza n'azaala aba tayagala kuyonsa
Embeera z'abantu zaakyuka ensonyi baazinaaba
Obwesigwa bwaggwawo kati buli omu
Amaaso agatwalira mu ngalo
Wakyamanga awantu n'osaba
Amazzi ag'okunywa naye kati wa
Twayitanga abantu jangu tulye
Naye kati tulya tweggalidde
Abaana baazannyanga ssonko na dduuru
Naye kati bazannyisa mmundu na biso
Enkuba tekyatonnya bw'etonnya etwala mayumba
Luli tewaali UPE naye ate ng'abaana basomaasomako
Kati byonna weebiri naye ate tebakyasoma eh yeah
Twalyanga empuuta ne tuwuuta ne ka ssupu
Naye kati empuuta twasigalira
Giryako maliba na magumba
Ba nabbi ab'enjawulo beeyongedde
Tetumanyi omutuufu y'ani
Ne Paapa talutumiddwa mwana
N'afulumya amateeka amapya
Abaana ku nguudo beeyongedde
Ne teargas yeyongedde
Poliisi ekwata abazadde ebamalawo
Oh what a mishap this
We have in our community
Buli kimu kya bbeeyi kuva ku kibiriiti
N'ebizimbe bwe bigwa
Bwe bitta abantu
Ebibuuzo bingi nnyo answer ntono ooh
Ne bwe nnyimba nnyimba lwa kunoonya kamere
Naye nga bino bye nnyimbako ssi bya masanyu
Mpulira obulumi baana ba nnyabo mutima gwange
Kko nze ka neesowoleyo mbyatule
Naye ensi eno ekyuse nnyo bannange
N'abasoma badaagana ng'abataasoma
Naye ensi eno ekyuse nnyo bannange
Olaba n'e Mulago e Makerere waggwayo eby'obwereere
Naye ensi eno ekyuse nnyo bannange
Ffe emmwanyi ezaatuweereranga tezigula kati na nva
Naye ensi eno ekyuse nnyo bannange
Kati Kampala ayokya naye mu byalo wakira okwokya
Naye ensi eno ekyuse nnyo bannange
Oooh oooh
Naye ensi eno ekyuse nnyo bannange
Ooooh oooh
Naye ensi eno ekyuse nnyo bannange
展开